﻿Zabbuli.
93.
Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa. 
Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. 
Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, n’amazzi g’ennyanja gayira. 
Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja. 
Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna. 
