﻿Zabbuli.
117.
Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna; mumugulumize, mmwe amawanga gonna. 
Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera. Mutendereze Mukama. 
