﻿Zabbuli.
121.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? 
Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. 
Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga. 
Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga. 
Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; 
emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro. 
Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. 
Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. 
