﻿Zabbuli.
130.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo. 
Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange. 
Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go? 
Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa. 
Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye. 
Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya. 
Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde. 
Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya mu byonoono bye byonna. 
